Psalms 106:6-47


6 aTwonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7 bBakadde baffe
tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8 cNaye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
9 dYaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 eYabawonya abalabe baabwe;
n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 fAmazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
ne wataba n’omu awona.
12 gOlwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
ne bayimba nga bamutendereza.

13 hWaayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 iBwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 jBw’atyo n’abawa kye baasaba,
kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 kNga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 lEttaka ne lyasama ne limira Dasani;
Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 mOmuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 nBwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 oEkitiibwa kya Katonda
ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 pNe beerabira Katonda eyabanunula,
eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 qebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 rN’agamba nti,
Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24 sBaanyooma eby’ensi ennungi,
kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 tBeemulugunyiriza mu weema zaabwe,
ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 uKyeyava yeerayirira
nti alibazikiririza mu ddungu,
27 vera nga n’abaana baabwe
balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28 wBaatandika okusinza Baali e Peoli;
ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 xNaye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
kawumpuli n’agenda.
31 yEkyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
emirembe gyonna.
32 zBwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
ne baleetera Musa emitawaana;
33 aakubanga baajeemera ebiragiro bye,
ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34 abAbantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 acnaye beetabika n’abannaggwanga ago
ne bayiga empisa zaabwe.
36 adBaasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
ne bibafuukira omutego.
37 aeBaawaayo batabani baabwe
ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 afNe bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 agBeeyonoona olw’ebyo bye baakola,
ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 ah Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
n’akyawa ezzadde lye.
41 aiN’abawaayo eri amawanga amalala,
abalabe ne babafuga.
42Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
ne babatuntuza nnyo ddala.
43 ajYabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
naye obujeemu ne bubalemeramu,
ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 akNaye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
n’abakwatirwa ekisa;
45 alku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 amN’abaleetera okusaasirwa
abo abaabawambanga.
47 anAyi Mukama Katonda,
otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
era tusanyukenga nga tukutendereza.
Copyright information for LugEEEE